Isaiah 41

Katonda Agumya Isirayiri

1 a“Musirike mumpulirize mmwe ebizinga,
amawanga gaddemu amaanyi.
Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero.
Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu.

2 b“Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba,
eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu?
Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga,
n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye,
obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro
ebitwalibwa empewo?
3N’agenda ng’abagoba embiro n’ayita bulungi mu makubo
ebigere bye gye by’ali bitayitanga.
4 cAni eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu
okuva ku lubereberye?
Nze Mukama ow’olubereberye
era ow’enkomerero, nze wuuyo.”

5 dEbizinga by’alaba ne bitya;
n’ensi yonna n’ekankana: baasembera kumpi ne batuuka.
6Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti;
“Guma omwoyo!”
7 eAwo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo,
n’oyo ayooyoota n’akayondo
n’agumya oyo akuba ku luyijja
ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,”
era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana.

Isirayiri Yalondebwa Katonda

8 f“Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange,
Yakobo gwe nalonda,
ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,
9 gggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensi
ne nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala,
ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’
nze nakulonda so sikusuulanga:
10 hTotya kubanga nze ndi wamu naawe;
tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.
Nnaakuwanga amaanyi.
Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”

Isirayiri Alinnya ku Balabe be

11 i“Laba, abo bonna abakukambuwalidde
balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku.
Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa
ne baggwaawo.
12 jOlibanoonya abo abaakukijjanyanga
naye n’otobalaba.
Abo abaakulwanyisanga
baliggwaamu ensa.
13 kKubanga nze Mukama Katonda wo
akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
Totya nze nzija kukuyamba.
14Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi
totya, ggwe Isirayiri,
kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,
Omutukuvu wa Isirayiri.
15 l“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo,
ekyogi eky’amannyo amangi.
Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala,
obusozi ne mubufuula ebisusunku.
16 mOliziwewa empewo n’ezifuumula,
embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye.
Era naawe olisanyukira mu Mukama,
era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”

Mukama Ayimusa Isirayiri

17 n“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi
ne baganoonya naye ne gababula,
ate nga ennimi zaabwe zikaze,
nze Mukama ndibawulira,
nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.
18 oNdikola emigga ku busozi obutaliiko kantu,
era n’ensulo wakati mu biwonvu.
Olukoola ndirufuula ennyanja,
n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.
19 pNdisimba mu lukoola omuvule ne akasiya,
omumwanyi n’omuzeyituuni,
ate nsimbe mu ddungu
enfugo n’omuyovu awamu ne namukago.
20 qAbantu balyoke balabe bamanye,
balowooze
era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino,
nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”

Mukama Asoomooza bakatonda Abalala

21 rBw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti,
“Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere.
Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.
22 s“Baleete bakatonda bwabwe
batubuulire ebigenda okubaawo.
Batubuulire n’ebyaliwo emabega,
tusobole okubimanya,
n’okubirowoozaako
n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.
23 tMutubuulire ebigenda okubaawo
tulyoke tumanye nga muli bakatonda.
Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi
tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.
24 uLaba, temuliiko bwe muli
ne bye mukola tebigasa.
Abo ababasinza bennyamiza.
25 vNonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange,
abeera mu buvanjuba.
Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka,
abe ng’omubumbi asamba ebbumba.
26 wAni eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye,
eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’
Tewali n’omu yakyogerako,
tewali n’omu yakimanya
era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.
27 xNasooka okubuulira Sayuuni
era ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi.
28 yNaye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino.
Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya,
tewali n’omu addamu bwe mbuuza.
29 zLaba, bonna temuli nsa!
Bye bakola byonna tebigasa.
Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”
Copyright information for LugEEEE